Colossians 3

Ebiragiro ku Butukuvu

1Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 2 aMulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi, 3 bkubanga mwafa era n’obulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda. 4 cKristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.

Obulamu obw’Edda n’Obulamu Obuggya

5 dNoolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala. 6 eKubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana ab’obujeemu abakola ebintu ebyo, 7 fate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga. 8 gNaye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi. 9 hTemulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye, 10 ine mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera. 11Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.

12Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza. 13 jBwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga. 14 kOkwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.

15 lN’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.

Amateeka g’omu Nnyumba z’Abakristaayo

16 mEkigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe. 17 nNa buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.

18 oAbakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.

19Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.

20Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.

21Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.

22Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe. 23Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, 24 pnga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo; 25 qkubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.

Copyright information for LugEEEE